Bukedde Ku Yintaneti

Omuko Ogusooka Ssenga Senga Temutwala lunkulu mu kitanda
Temutwala lunkulu mu kitanda | Print |  E-mail
Monday, 28 September 2009 14:33

OMUSAJJA eyeemoola atama! Ate owolunkulu tamalaako. Era batabani njagala okubakakasa nti abantu ab’ekika kino tebawa bakyala oba baami baabwe mukwano mujjuvu. Mu kifo ky'okulaga munne laavu, adda mu kwemoola n’oluusi okwesesa wamma n’osoberwa.

Ne bwe muba muli mu kunyumya kaboozi bw’omutunulako mu mmunye okulaba bw’asolobeza ng’ate azibirira! Batabani, mulina okukimanya nti kabiite wo bw’akulaba engeri gy’otambuzaamu amaaso, akamwenyumwenyu k’oteekako n’engeri gy’otunulamu naye afuna eky’okukola naddala okumanya oba owoomerwa oba nedda.

Munno w’asalirawo okujja ewuwo n’ayingira ekitanda n’akkiriza okumutema sipeeya ate lwaki odda mu bya mpaako! Baana bange, abawala abo baagala nnyo okubaanguyiriza obulamu.