Bukedde Ku Yintaneti

Amawulire
Ababanja Michael Ezra bamuyimbulidde wannyondo omukambwe | Print |  E-mail
Bya Musasi waffe   
Thursday, 09 September 2010 13:44
EBY’OMUGAGGA Micheal Ezra bibi abamubanja bwe bamuyimbulidde wannyondo w’omu Kampala omukambwe amukwate kubanga alemereddwa okubasasula ate nadda mu kweraga ne doola zeyalaga mu mawulire.
 
Hawusigaalo abbye omwana | Print |  E-mail
Bya Martin Ndijjo   
Thursday, 09 September 2010 13:38
HAWUSIGALO  gwe balekedde bebi e Mutungo abuzewo naye nga kirowoozebwa nti abadde amututte kumusaddaaka. We bamunsagidde ng’amaze okumukwasa omusajja Isma Ssentongo e Nansana ng’amusibidde mu nnyumba kyokka ab’oku muliraano ne bafuna okwengera we bamuwulidde ng’akaaba nnyo ate nga bakimanyi bulungi nti awaka awo tewali mwana yadde omukazi.
 
‘Aba NRM bannanfuusi’ | Print |  E-mail
Bya Richard Kayiira ne A. Kateregga   
Thursday, 09 September 2010 13:23
SSENTEBE wa disitulikiti y’e Masaka Vincent Ssempijja alumirizza omuduumizi w’amagye Gen. Aronda Nyakairima nti ye yabadde emabega w’emivuyo mu kulonda kwa NRM mu Kalungu East, wabula amagye ne gabisambajja nga gagamba nti gaagenzeeyo oluvannyuma lw’okuyitibwa poliisi okukka-kkanya abaabadde beegugunze.
 
Ssentebe w’eggombolola y’e Bukulula bamusazizzaamu | Print |  E-mail
Bya Ssennabulya Baagalayina   
Thursday, 09 September 2010 13:07
SSENTEBE w’eggombolola y’e Bukulula mu disitulikiti y’e  Kalungu,  Charles Muyanja awuniikiridde bw’ategeezeddwa nti bendera y’ekibiina eyamulangiriddwaako bw’agiwangudde okugivuganyizaako 2011 nti emuggyiddwaako n’eweebwa gwe yabadde awangudde.
 
Aba kansa batandise okutondoka | Print |  E-mail
Bya Deborah Nanfuka   
Thursday, 09 September 2010 12:00
GAVUMENTI esabiddwa okuyamba amangu abalwadde ba kansa abatandise okufa oluvannyuma lw'ekyuma ekibakalirira okufa. Kyafudde wiiki bbiri emabega nga sipeeya waakyo yeetaagisa kulagirizibwa China kubanga ye yakitonera eddwaaliro ly’e Mulago mu 1988 nga kiri kimu mu ggwanga.
 
Amerika etonye eddagala lya siriimu | Print |  E-mail
Bya Kigongo Ssebalamu   
Thursday, 09 September 2010 12:00
GAVUMENTI y'Amerika ekwasizza Minisitule y’ebyobulamu eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa siriimu lya bukadde bwa ddoola butaano n'ekitundu.
 
Alumbye Musumba | Print |  E-mail
Bya Tom Gwebayanga ne Ahmed Mukiibi   
Thursday, 09 September 2010 10:33
KANSALA Martin Muzaale Mugabi eyawangudde Minisita Isaac Musumba amulabudde nti bw’agezaako ne yeesimbawo ku lulwe mu 2010, ajja kumumegga n’enkoona enywe.
 
‘Tewali nsonga ebaguza kalulu’ | Print |  E-mail
Wednesday, 08 September 2010 13:47

Kuno kwe kwogera kwa Pulezidenti Musevenieri bammemba ba NRM abali e Namboole nga bwe kufunziddwa  AHMED KATEREGGA: