
Nabagereka ng’ayogera
KampalaBya Lilian Nalubega
NABAGEREKA Sylvia Nagginda akkaatirizza Obukulu bw’abantu okwesigama ku nnono zaabwe n’agamba nti biyamba mu kutumbula embeera z’abantu.
Nabagereka agambye nti abazadde okuvaayo ne batwala abaana baabwe mu kisaakaate kabonero akalaga nti baagala abaana okukwata empisa zaabwe n’asaba abazadde okuba abasaale ate okuyamba abo abakyetabamu okujjumbira okussa mu nkola ebyo ebiba bibayigiriziddwa mu kisakaate.
Nabagereka bino yabyogedde aggalawo Ekisaakaate eky’omulundi ogwomukaaga ekimaze wiiki bbiri nga kibumbujjira ku ssomero lya St. Mary’s SS Kitende nga kyetolooledde ku mulamwa ‘Obuwangwa bwa Nkizo mu Nkulaakulana”
Nabagereka yagambye nti baakulowooza ku nsonga y’okuteekawo Ekisakaate ky’abantu abakulu kyokka n’ategeeza nti abantu bangi bamanyi eby’okukola kyokka tebaagalabwagazi kubissa mu nkola ne kibafuula abatamanyi.
Ku ky’okutwala ekisakaate mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo Nabagereka yagambye nti mu nteekateeka ze balina baagala okulaba nga abaana ba Buganda yonna gye bali mu masomero bafuna okubangulwa nga bayita mu nteekateeka y’eKisakaate era nga kino baakukikola nga baweereza abagunjuzi abatali bamu mu masomero.
Yagambye nti mu kiseera kino bateekateeka kuzimba maka ga Kisaakaate we kinaasimbanga amakanda gaakyo okubuna Buganda.
Omukolo gwetabiddwako sipiika w’olukiiko lwa Buganda, Hajji Kaddu Sserunkuuma, Omumyuka owokubiri owa Katikkiro Mohamud Ssekimpi n’abalala.