
Kabaka ng'asitudde Omulangira Ssemakokiro
KampalaBya Ahmed Katereregga, Anthony Sempeereza ne Robert Masengere
OBUGANDA bucamuse era ne bucacanca n’okusagambiza oluvannyuma lw’amawulire ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll okufuna omulangira wa Mujaguzo .
Twafunye amawulire g’omulangira ono ne tunoonyereza era ne tuzuula nti matuufu kuno ne tugattako n’ekifanyi kya Kabaka ng’amusitudde olwo ne tusalawo okutuukirira Katikkiro alina obuvunaanyizibwa bw’okulangirira amawulire agalinga gano.
Katikkiro Ying. John Baptists Walusimbi, eyawulikise ng’asanyusiddwa nnyo amawulire gano , yategeezezza ku ssimu nti “Ani oyo asobola okwetuminkiriza n’alangirira okuzaalibwa kw’omulangira w’eng’oma ? Ogwo mulimu gwa Katikkiro. Ate nze sinnamanyisibwa nti waliwo omulangira w’eng’oma eyazaaliddwa.” Wabula yagasseeko nti teyeewuunya bantu kwetulinkiriza na kucamuka okw’engeri eyo nti kubanga baludde nga balangirira omulangira alinze.
Kabaka bwe yawasa Nnaabagereka mu mbaga y’ekyasa eyaliwo mu 1999 eyamenyawo eya Majanja, Abaganda baafuna essuubi lingi naddala bwe yazaala omumbejja Katrina Sangalyambogo nga July 2001. Olwo baalindirira omulangira ne batuuka n’okwesiba ku mwana agambibwa nti yali wa mugenzi Dr.Sulaiman Kiggundu, Kabaka gwe yasitula ku mukolo ogwali mu Ekirisiya y’Abasoddokisi e Namung’ona.

Katikkiro JB Walusimbi
Katikkiro yasabye Bukedde emuweereze ekifaananyi ekyo, era ne kimuweererezebwawo. Olwamaze okukifuna, kwe kufulumya ekirangiriro eky’enjawulo.
Kabaka n’Omuzaana baasisinkana mu Lubiri lw’e Baamunanika
Kabaka Mutebi okuva lwe yalya Nnamulondo, afunye okuwakanyizibwa okuva mu Balangira. Baasooka kwesiba ku kya Kabaka okulwawo okuwasa kyokka mu 1999 bwe yawasa ne bibakalira ku matama.
Nnaabagereka bwe yazaala Omumbejja Ssangalyambogo, olwo Abalangira ne beegattibwako Abaganda abamu nga babanja Omulangira ayinza okusikira Nnamulondo kubanga Omulangira Jjunju Kiweewa (omwana wa Kabaka omukulu) tasikira Nnamulondo.
Abalangira abalwanyisa Kabaka baawa ekya Kabaka obutalaga musika ng’emu ku nsonga lwaki baali baagala okumuggyako.
Ensonda zaategeezezza nti Kabaka yaweebwa amagezi akkirize afunire Buganda Omulangira. Abawi ba Kabaka abamagezi n’emikwano gye abamuli ku lusegere baatandika okunoonya omuzaana anaazaala Omulangira ne bamufuna mu luggya lwa musajja wa Kabaka, Omutaka w’e Bulemeezi eyeddira Enseenene.
Ssaabasajja abadde asisinkana omuzaana ono naddala mu Lubiri e Bamunanika era okuzaala Omulangira kyategekebwa mu bukugu bwa ssaayansi w’abasawo.
Abeekika ky’Enseenene baakola omukolo gw’okutwalira Ssaabasajja amakula bwe batyo ne bakiika mu Lubiri. Ku mukolo guno Omuzaana eyazadde Omulangira yaguliko era abantu abatonotono kwe baalabira Omuzaana ono.
Ebyo okubaawo, waaliwo okunoonyereza ku famire omuva Omuzaana n’akkirizibwa ng’alina ebisaanyizo byonna ebyetaagisa omukazi agya mu kitiibwa kya Kabaka.

Omumbejja Teyeggala
Ago mawulire malungi - Omumbejja Teyeggala
Omumbejj Diana Teyeggala, mwannyina wa Kabaka Ronald Mutebi ll, nga yenna abugaanye essanyu, yagambye nti “Ago mawulire malungi naye si nze muntu omutuufu asaanidde okubaako kye njogera.”
Abalangira n’abambejja abalala abawerako baagaanyi okubaako kye boogera nga bagamba nti Balinda Kabaka obutereevu oba ng’ayita mu Ssaabalangira, okubanjulira omuzaana mu kigango kyabwe e Namirembe oba mu kya buli mwaka kye bategeka okutuuza mu lubiri e Mmengo.
Abalangira n’Abambejja be balonda atuula ku Nnamulondo - Ssimbwa
Omulangira David Simbwa, muto wa Ssekabaka Edward Muteesa ll era kitaawe omuto wa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll yagambye nti “amawulire ago ngaanirizza.
Naye kisaana kitegeerekeke nti Omulangira okutuula ku Namulondo, alina kumala kukkirizibwa ffe Abalangira n’okulondebwa Olukiiko lwa Buganda.” Kabaka wa Buganda alondebwa Lukiiko okuva mu bazzukulu ba Ssekabaka Mukaabya Muteesa l.

Omulangira Ssimbwa
‘Olukiiko lwa Buganda lwe lulonda Kabaka’
EYALI Minisita w’ebyamateeka era Ssaabawabuzi wa gavumenti eya wakati ne Mmengo Mw. Godfrey Lule eyagambye nti Kabaka asobola okuba nga takolanga ku Junju mikolo gya Kiweewa, ng’amwagaliza obusika.
Yagasseeko nti newankubadde mu buwandiike okuva ku ndagaano ya 1900, Kabaka alondebwa Lukiiko, nti kyokka Olukiiko era lubadde lulondera ddala oyo Omulangira Kabaka aba akisizza omukono gw’aba alaamidde, nga bwegwali mu 1939 Sir Edward Muteesa ll okusikira kitaawe Ssekabaka Daudi Chwa ll ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll okusikira kitaawe Sir Edward Muteesa ll.

Godfrey Lule
Amawulire tugaaniriza n’essanyu - Luwalira
OMULABIRIZI w’e Namirembe, Wilberforce Luwalira bwe yategeezeddwa ku kuzaalibwa kw’Omulangira yasoose kubuuza oba ebyogerwa bituufu, okutuusa omusasi lwe yamukakasizza nti ne Katikkiro yabadde amaze okulangirirwa n’agamba nti: “Amawulire ago fenna tugaaniriza n’essanyu.”
Ate omutaka Musoke Ssevvume, omwami wa Kabaka ow’essaza Mugerere ow’e Bugerere naye yagambye nti tasanyusiddwa nnyo n’asaba omulangira akulizibwe ddala mu mpisa eng’anda.
Abakungu n’abakozi b’obwakabaka bwa Buganda ku Bulange e Mmengo eggulo, baalabise nga basanyusiddwa ekifaananyi nga n’abamu bagamba nti omwana yabadde talina we yaleka Kabaka kyokka nga bino byonna babikolera mu kimugunyu kubanga Katikkiro yabadde tannalangirira.
Ku mukutu gwa yintaneeti, okukubaganya ebirowoozo kwabaddeko ng’abamu nga Kassim Lubega bagamba nti bafa kimu kumanya mannya ga muzaana, ekika kye n’omuziro oluvannyuma lw’okuba ng’omulangira Jjunju Ssuuna Kiweewa, nnyina omuzaana Venetia Sebudandi, Munyarwanda.
Abaana ba Kabaka Ronald Mutebi ll abalala be ba: Omulangira Jjunju Suuna Kiweewa n’abambejja; Joan Nassolo, Victoria Nkinzi ne Sarah Katrina Ssangalyambogo azaalibwa Naagereka Sylvia Nagginda Luswata .
Omutaka Ndugwa Grace Ssemakula Musoke, ow’ Olugave yasanyukidde nnyo Buganda okufuna omulangira n’agamba nti yeegasse ku banne abalala abalangira ba mujaguzo omuli Junju Ssuuna Kiweewa ne bato ba Kabaka Ronald Muwenda Mtebi ng’Omulangira David Kintu Wassajja.
Ndugwa yawabudde nti omulangira Ssemakookiro, wa Mujaguzo nti si musika nti kubanga Abaganda bwe bamala okugamba nti “Ssaabasajja Kabaka awangaale,” ate awo teboongerezaako bya musika oba mulangira alinze okutuusa ng’ekiseera kyakyo kituuse.
Ng’atuuse ku bwakiweewa, Ndugwa yagambye nti obwo bwasigala kwogerwa mu kaama okuva omu ku Bassekabaka ba Buganda 36 okuva ku Ssekabaka Kintu, bwe mulimu Kiweewa Mutebi, eyafugira Obuganda omwezi ogumu.