
Sserebe kitaawe w’omuzaana azaala Ssemakookiro ne mwannyina Nakimenya
Bya Edward Sserinnya
OMUZAANA eyatuzaalidde Omulangira Richard Ssemakookiro ye Rose Nansikombi.
Bazadde be Bukedde abazudde ye Ssaalongo George Edward Sserebe ne Nnaalongo Christine Nalubanjwa ab’e Bulemeezi.
Sserebe yali yeesunga kufuna mukisa kulaba bulabi ku Kabaka ekyo ye nga kimumala. Mu 1996, Ssaabasajja bwe yalambula Sempa mu Bulemeezi nga Rose Nansikombi (eyazadde Omulangira) yalina emyaka munaana gyokka.
Kabaka yalambula abalimi okwali Muky. Alice Nakimenya Tebalindya, ssenga wa Nansikombi. Kabaka yakwata omukyala ono mu ngalo era ekitiibwa ekyo famire yonna okuli ne Ssaalongo Sserebe bakyenyumiririzaamu.

Essomero Nansikombi mwe yasomera
Amawulire bwe gaayanjuddwa mu July 2011, nga Rose Nansikombi azadde Omulangira, Sserebe ne famire ye kyabayitiriddeko.
“Ebigambo byatuweddeko. Ffe baani abafuna ekitiibwa ekyo?” Sserebe bwe yeebuuzizza.
Nansikombi alina emyaka 24. Yazadde Omulangira Ssemakookiro nga July 10, 2011 mu ddwaaliro e Nsambya, mu waadi ya Our Lady of Fatima mu kisenge ekiyitibwa Madhvani.
Ssemakookiro yabadde azitowa kkiro 3.4 era yazaaliddwa ku ssaawa 7:30 mu ttumbi.
TAATA WA NANSIKOMBI ATTOTTOLA
Omutaka Sserebe twamusanze mu maka ge e Nswanta, mu Ggombolola Mituba-ebiri ekyesudde mayiro nga 20 okuva e Bamunaanika. Wadde afa essanyu, kyokka atya okwogera ku muwala we Nansikombi. “Ebintu ebirimu Kabaka bizito nnyo, simanyi we ntandikira na we nkoma,” bwe yagambye.

Ssenga wa Nansikombi ng’abuuza Kabaka lwe yalambula Bulemeezi mu 1996.
N’agattako: eby’abaana abawala si byangu nnyo. Nnali ndi awo ne bakantema nti muwala wange azaalidde Kabaka omwana. Mu kusooka kyalinga kirooto wabula bannyina ba Nansikombi bankakasa nti kituufu. Ndi musanyufu okulaba nga kino kituuse mu maka gange okubaamu Omulangira si kyangu. Kino Katonda ye yakireese.
Yagambye nti Nansikombi yakulira wa jjajjaawe omugenzi Kezekia Masembe, eyali abeera ku kyalo Monde ekyesudde mayiro nga ttaano okuva e Nswanta.
Nansikombi yazaalibwa mu 1987. Yasomera mu Grammer P/S ne Tweyanze C/U P/S. Okuva awo Nansikombi n’adda mu mikono gya ssenga we Alice Nakimenya Tebalindya e Lukooge ne jjajjaawe Masembe.
NANSIKOMBI ASISINKANA KABAKA
Nansikombi alina mukwano gwe nga y’omu ku bazinyi ba Kabaka. Kigambibwa nti Nansikombi yayagala nnyo okugendako mu Lubiri, bw’atyo ne yeekwata mukwano gwe gw’abadde atera okugenda naye e Bamunaanika buli lw’ebaayo emikolo.
Bwe bagenda mu Lubiri oluusi balwayo kubanga Kabaka aba n’emikolo egy’enjawulo. Ensonda zaategeezezza nti mu kulwa mu Lubiri, Ssaabasajja we yasiimira omuzaana we ono avuddemu Omulangira.
MAAMA WA NANSIKOMBI MUYI
Nnaalongo Nalubanjwa azaala Nansikombi, mulwadde. Twamusanze mu kisenge alumizibwa sukaali n’agamba: Nansikombi nnamuzaala mu l987. Muwaako obujulizi muwala wa mpisa nnyo.

Essomero Nansikombi mwe yasomera
SSENGA WA NANSINKOMBI ANNYONNYOLA
Ssenga wa Nansikombi ayitibwa Nakimenya Tebalindya yagambye nti Nansikombi bwe yatandika
okusoma nga buli luwummula abeera wuwe n’amuyigiriza emirimu n’empisa z’omuwala Omuganda.
“Bwe yafuna olubuto, yajja ewange e Lukooge n’ambulirako ku nsonga zino nti alina ettu lya Mugema (olubuto lwa Kabaka). Ssaasooka kukikkiriza kyokka mwannyina omulala bwe yaking’amba era n’ankakasiza ddala nti kituufu. Bwe nnakiwulira nti omwana wange y’azadde Omulangira, ekiro ekyo otulo twambula n’okutuusa kati, essanyu limpitiriddeko,” bwe yategeezezza. Ewuwe e Lukooge yavuddeyo n’ajja ewa mwannyina Sserebe era essanyu libattira awo.
Nansikombi abadde atera okubeera e Wobulenzi eri mwannyina. Kyokka omwaka oguwedde yaddayo ewa kitaawe Sserebe okuyambako okujjanjaba nnyina omulwadde.
“Mu 1996, Kabaka yatulambula n’atuuka mu maka gaffe. Nansikombi yalina emyaka munaana gyokka. Okuva olwo ntendereza ekitiibwa kye twafuna okukyaza Kabaka. Nnali ssisuubira nti Ssaabasajja ayinza okusiima muwala wange azaalire Buganda Omulangira,” bwe yagambye.
MUKULU WA NANSIKOMBI AYOGEDDE
Mukulu wa Nansikombi ayitibwa, Prossy Babirye yagambye nti Nansikombi amuddako gwakusatu.
Yamwogeddeko ng’omuwala omusirise era kizibu nnyo okumuggya omuze.
Kigambibwa nti Nansikombi aliko w’ali mu Kampala. Bazadde be baagambye nti nabo tebamanyidde ddala w’ali, wadde ng’abakubira essimu okumanya nnyina bw’ali n’okubagumya nti ali bulungi.
Mwannyina Nansikombi ayitibwa Samuel Makubuya yamwogeddeko ng’omuwala omukozi, musirise ate alina empisa.
Ebikwata ku Nansikombi
1. Nansinkombi yazaalibwa mu 1987. Alina emyaka 24.
2. Aludde nga yeetaba ku mukolo Kabaka gy’abeerako mu Lubiri e Bamunaanika era eno gye yamusiimira.
3. Omulangira Ssemakookiro yamuzaalidde mu ddwaaliro e Nsambya nga July 10, 2011.
4. Nansikombi kati aliko ekifo ekyekusifu ky’abeeramu mu Kampala.
5. Maama wa Nansikombi mulwadde, atawaanyizibwa obulwadde bwa ssukaali.