breaking news
Amawulire
Omuzaana azaala Semakookiro Kabaka amututte mu Lubiri e Banda
  • Jan 23, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Kabaka

Kampala

Bya Musasi Waffe

KABAKA Mutebi alagidde Omuzaana Rose Nansikombi nnyina w’Omulangira Richard Ssemakookiro atwalibwe mu Lubiri e
Banda ng’enteekateeka z’okukola emikolo gy’ebyobuwangwa ku Mulangira bwe zigenda mu maaso.

Ensonda eneekusifu zaategeezezza nti omuzaana yateekeddwa mu nnyumba ya jjajja wa Kabaka Kisosonkole enkadde eriraanye Olubiri lwa Kabaka e Banda. Kino kyakoleddwa oluvannyuma lw’Abataka okuwabula nti Kabaka bw’azaala

Omulangira ayinza n’okumusikira, Omulangira oyo tayinza kubeera mu lujjudde okutuusa ng’akoleddwako
emikolo gy’ebyobuwangwa.

Ensonga z’Omulangira Ssemakookiro eyazaalibwa nga July 10, 2011 zibadde zikuumiddwa
nga zaakyama okumala emyezi etaano. Olw’abantu okwagala okulaba ku Mulangira n’okumanya omuzaana, Kabaka
kwe kuweebwa amagezi amusse awantu awatali wangu ku batuukako.

Ensonda zaagambye nti Kabaka yali asiimye Omuzaana abeere mu Lubiri e Bamunaanika kyokka ng’eyo abantu basobola mokuyingirayo. Kyokka Bukeddeteyasobodde kufuna boogezi batongole ku nsonga eno.

Ogumu ku mikolo emikulu egikolebwa ku Mulangira, kwe kumutwala mu Masiro ga bajjajjaabe e Kasubi empewo zimufuuweko n’okumulaga Bassekabaka ba Buganda. Omukolo guno gukolebwa Ssabalangira Yinginiya Kayima.

Wabula omu ku boolulyo Olulangira yategeezezza nti omukolo gw’e Kasubi bakyebuuza ku
ngeri y’okugukolamu kubanga Amasiro mu kiseera kino tegaliiwo. Amasiro gaayokebwa mu March wa 2010.

Ekifo awagalamiziddwa Bassekabaka ekiyitibwa ‘mu kibira’ omulangir waakolerwako emikolo tekiriiwo kyonna omuliro ogwayokya Amasiro gwakisaanyawo nga mu kiseera kino tewayinza kukolerwawo mukolo gwa byabuwangwa kuba
ne Bassekabaka bennyini babikkiddwako kiveera.

Abamu ku Bataka abateeekeddwa okukola emikolo ku Mulangira Ssemakookiro ye Kasujju Lubinga-ono y’akuuma Abalangira, Omutaka Kalibbala Owenseenene nga ono ye weekika omuva omuzaana Nansikombi era nga ye emikolo agikolera mu Lubiri lwa Kintu e Magonga mu Ssingo.

Omutaka Kalibbala emikolo yali ateekeddwa kugikola Lwakutaano oluwedde kyokka ne yeesanga nga waliwo ebintu ebimu by’atalina okuli embuzi n’endiga ebiteekeddwa okusalibwa ng’akola omukolo guno.

Omutaka Mugema naye alina emikolo gy’ateekeddwa okukola ku Mulangira era nga emikolo gino gyonna giri mu kuteetebwateekebwa nga n’egimu gyatandikibwako dda.

  • Jan 23, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola