
Katikkiro ng’abuuza ku basuubuzi
KampalaBya Lilian Nalubega
KATIKKIRO wa Buganda Ying. J.B.Walusimbi ayanjudde enteekateeka y’okuzimba amasiro g’e Kasubi w’eyimiridde mu kiseera kino n’ategeeza nga bwe bagenda mu maaso n’okunoonya kontulakita omutuufu anaagazimba.
Yagambye nti akadde konna agenda kulangirira okutandika okuzimba amasiro g’e Wamala nga bwe kyasalibwawo nti ge galina okusooka.
Walusimbi yagambye nti mu buwangwa kiba kikyamu okuzimba amasiro nga ag’e Kasubi ng’amasiro amakulu Kasubi mw’ava gali mu mbeera mbi n’ategeeza nti kyasalibwawo enteekateeka zitandike ng’ez’okuzimba Wamala ziwedde.
Yabadde asisinkanye abasuubuzi abakolera e Nakasero abeegattira mu kibiina kya ‘Nakasero Family Group’ abaakulembeddwamu ssentebe waabwe Hajjat Yudaya Naigane abaamukwasizza 1,000,000/ nga ku zino 500,000/ zaabadde zaakuzimba Masiro.