
Bwanika (owokusatu ku kkono) ng’alambuzibwa ebigoma ebyabomose.
KampalaBya ROGERS KIBIRIGE
SSENTEBE wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika asabye abatuuze okuzzaawo enkola ya bulungibwansi ku makubo agayita mu bitundu byabwe.
“Tuzzeewo enkola yaffe eya Bulungibwansi tuleme kulindanga bakulembeze ne ku bintu bye tuyinza okwekolerako nga tetusasaanyizza nsimbi yonna”, Bwanika bwe yasabye.
Okwogera bino yabadde atongoza omulimu gw’okukola oluguudo lwa Kyengera-Nabaziza-Nabbingo olusangibwa mu ggombolola y’e Nsangi oluwezaako kiromita 2 n’ekitundu era nga lugenda kuwemmenta obukadde 80.
Oluguudo luno nga terunnatongozebwa lwasoose kuvaako luyombo wakati w’abatuuze abaakulembeddwamu ssentebe w’eggombolola y’e Nsangi, Abdu Kiyimba n’akulira kkampuni ya EMCO works Limited eyaweebwa omulimu gw’okukola oluguudo lwabwe Posiano Kitandwe nga bamulanga okulukola mu ngeri ya gadibengalye.
Bwanika eyabadde n’akulira abakozi David Kigenyi Naluwairo baabalambuza oluguudo luno okuli n’ebigoma ebyazimbiddwa
mu makubo agava ku luguudo luno okutwala abatuuze mu maka gaabwe ebyayonoonese nga n’oluguudo terunnaggwa.