KampalaBya Sara h Zawedde
MINISITA omubeezi owa Bulungi Bwansi e Mmengo Mariam Mayanja agambye nti bagenda kukolagana ne dayirekita wa KCCA balabe nga bazzaawo enkola ya Bulungibwansi abadde asanyeewo basobole okukulaakulanya
Kampala.
“Nga Buganda, tulina obusobozi n’enteekateeka etusobozesa okukunga abantu baffe ne bakola. Bwe twegatta awamu ne KCCA gattako abantu okufuna omutima ogulumirirwa ensi yaabwe, tujja kukulaakulanya Kampala ne Buganda yonna nga tuyita mu kukola Bulungi Bwansi.
Era tutongoza nti buli mwezitujja kufuna olunaku lumu tukunge abantu tukole Bulungibwansi owa wamu mu kitundu ekimu, Kawempe ayakaayakane,” Minisita Mayanja bwe yagambye.
Yabyogedde atongoza Ssabaddu wa Kyebando Wasula Kasule Bagenda, abatongole n’abaweereza ba Ssaabasajja 27 mu muluka guno.
Kaggo Tofiiri Malokweza eyabambaza eminagiro n’okubakwasa satifikeeti. Yabasabye okukolera awamu
nga beebuuza ku bannaabwe basobole okutambulira awamu.